Display Videos ( 51 - 75 of: 134 )
LONGOOSA OBUSIRAAMU BWO
2015-12-26
Shk. Yannyonnyola nti kigwanidde eri buli musiraamu ayagala obuwanguzi okulongoosa obusiraamu bwe nga akola ebyo ebyamulagirwa era n’okulekayo ebyobujeemu.
ENKOMERERO EMBI
2015-12-26
Yasomesa Shk. Mukatundu kano ekigambo kya Nabbi (s.a.w) ekigamba nti: Mazima omuddu ayinza okuwangaala nga akola emirimu gy’abantu bomujjana okutuusa nga abuzaayo ekigero ky’enzira agiyingire ate n’akola emirimu gyabantu b’omumuliro naguyingira”
EBYAFAAYO BYA SHK. SUDAIS
2015-12-26
Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno ebyafaayo bya Shk. Sudais, okuzaalibwa kwe, okukula kwe n’okusoma kwe,
EBYONOONO EBINENE
2015-12-22
Yannyonnyola Shk. Amakulu g’ebyonoono ebinene, nenjawulo wakati wabyo nebitono, era nti mubinene mulimu ebikira kubinnaabyo okugeza nga okwenda ku mukyala wamulirwana, n’okubba munju yamulirwana nebirala.
MWAWULE OBUSIRAAMU N’EBWOBUWANGWA
2015-12-22
Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Umar swidiiq Ndawula, era nga yannyonnyola mugwo emisingi okwazimbibwa obw’obuwangwa bya Buganda n’okwawukana kwabyo ku mateeka g’obusiraamu, era nti buli kimu kyonna ekyawukana nobusiraamu tukireka nekitwatagana nago tukikolere ko.
EKIFUBA EKIRAMU
2015-12-22
Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno amakulu g’ekifuba ekiramu, obukulu bwakyo, ne nsonga ezikuyamba okufuna ekifuba ekiramu.
EMITEEKO GY’EMIKWANO
2015-12-21
Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Umar Ndawula era nga yannyonnyolemu hadiith ya Nabbi (s.a.w) “nti teri muntu yenna okujjako nga alina abemikwano basatu: Owomukwano akugamba nti ndi wamu naawe twala kyonna kyoyagala ebbanga lyemba nga wendi, eyo ye mmaali yo,
OBUKULU BW’OKUSADDAAKA
2015-11-17
Yannyonnyola Shk. Obukulu n’omugaso gw’okusaddaaka eri omuntu kuno kunsi ne kunkomerero
OBUKWAKKULIZO BWOKUWASA
2015-11-17
Yayogera Shk. Wano obukwakkulizo bwokuwasa buna era nga bwebuno; 1: Okubaawo kwabafumbo ababiri, 2:Okubaawo kwabajulizi babiri nga besiimbu, 3:Okusimagana wakati wabagenda okufumbiriganwa, 4: Okubaawo kwoyo alina obuyinza kumugole omukyaala (waliy) era alina okuba nga mutereevu mu ddiini.
EKIRAAMO KYA NABBI ERI ABI HURAIRAT
2015-11-17
Yayogera Shk. Nti owekitiibwa Nabbi yalaamira Abu hurairat ebintu bisatu; 1: okusiibanga ennaku satu mubuli mwezi, 2: obutalekangayo raka’a ebbiri eza swalat Dhuha, 3: obutebaka nga tasadde witiri.
OKWEREKEREZA ENSI
2015-11-17
Yesigamiza Shk. Omulamwa guno ku bigambo bya Shk.Ibn Qayyim yagamba nti: Sikyakabenje elyaato okuba mumazzi, naye ekyakabenje gemazzi okuba mulyaato. Era nga ekyo kitegeeza nti: Tekirina buzibu omukkiriza okuba muduniya naye obuzibi ye duniya okuba mumutima gwo mukkiriza, nabakubiriza okujerekereza
EKYENGERA KY’AMAGEZI
2015-11-17
Yannyonnyola Shk. Nti enjawulo eyamaanyi wakati w’omuntu n’ebisolo ge magezi, era Allah yasukkulumya omuntu n’amagezi kubitonde ebirala, Oyo yenna atakozesa magezi ge kwawula Allah, ebisolo bimusinga
EBITENDO BY’OMUKOWOOZE
2015-11-17
Omusomo guno gwasomesebwa Dr. Abdallah Al huthairy, eri ba Imaam ne be badua’t e Uganda, era nga yannyonnyola mugwo obukulu bwokkowoola eri Allah, oluvannyuma nayogera ebimu ku bitendo byoyo akawoola eri Allah, nga okwesibirira okumanya kwa sharia, nebikuirikiriza, obuguminkiriza, nokwetikka obuvunanyizibwa, okkozesa amagezi, nokwekwata ku Qur’aan ne sunna, nokwewala enjawukana.
SWADAQA EKULUKUTA
2015-11-17
SHK. Yannyonnyola ekigendererwa muswadaqa ekulukuta mubusiraamu, obukulu n’obuluungi bwayo, n’akubiriza abasiraamu okuwaayo swadaqa ezinabayamba nga bavudde kunsi
EBIGENDERERWA BY’OKUSIIBA
2015-11-17
Yannyonnyola Shk. Mumuso guno nti ebimu kubirungi bya Allah eri Ummah eno kwekuba nti yatulaalikako okusiiba, era n’ayogera ebibu kubigendererwa by’okusiiba nga mulimu: Okuzza obujja obukkiriza n’okutya Allah, okusonyiyibwa, mulimu emigaso egyobulamu, okuvuganya wakati wabantu, oluvannyuma nagerageranya wakati wokusiiba nempagi endala.
OKUNNYONNYOLA EMPANGAALA Y’OMUSIRAAMU
2015-11-17
Omusomo guno gwasomesebwa Dr. Yahya Ssemuddu, era nga yannyonnyola mugwo obujjuvu bwe ddiini y’obusiraamu, era nti Nabbi yali kyakulabirako kirungi eri obulamu bw’omusiraamu, era n’ayogera ebivunaanyizibwa by’omuntu eri Allah we, n’eri Nabbi, eri omwogwe n’abantu be, n’eri abantu banne nebazadde be.
OBULUNGI BWA LAILATUL QADRI
2015-11-17
Omusomo guno gwa somesebwa Dr. Yahya Ssemudde era nga yannyonnyola mugwo amakulu ga Lailatul qadri, n’obulungi bwakyo nti: Qur’aan mweyakkira, era nti kisinga emyezi lukumi obulungi, era kiro kyamikisa n’amirembe, era bamalayika bakkirikalamu, era kibaamu okugera kwebinaabaawo mu mwaka ogujja, mulimu n’okusonyibwa amazambi
BIKI EBITOOLWAMU ZAKAAT
2015-11-17
Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Idriisa Luswaabi, era nga yannyonnyoleramu obukulu bwa zakat nobulungi bwaayo, n’ebintu ebivaamu zakaat: zaabu ne feeza, ebisolo ebirundibwa, ebirime n’ebibala, n’ebyobusuubuzi
ZAKAAT Y’ABEMISAALA
2015-11-17
Yannyonnyola Shk. Amakulu ga zakaat mululimi ne mumateeka, n’obulungi bwayo, nekigero ekitandikirwaako okuwa zaka mu sente za Uganda, n’engeri abemisaala gye bawaamu zakaat, n’ebibonerezo by’abatawa zakaat.
OKUNNYONNYOLA EMIGASO GYA HIJJA
2015-11-17
Yannyonnyola Shk. Nti Allah yatuteerawo ebiseera byokufuna ebirungi, nga ebiseera by’okusiiba, era ebimu kubirungi Allah byeyawa Ummah eno kwekuba nti yatuteerawo okukola hijja era nga erimu emigaso mingi: okwenkanya wakati w’abantu, okuwula Allah, okuvuganga mubirungi, okuteekateeka omusiraamu bulungi, okwegatta kwa Ummah
OBULUNGI BWA A’SHUURA’A
2015-11-17
Yannyonnyola Shk. Amakulu g’olunaku lwa A’shuura’a, ebyafaayo byalwo, obukulu n’obulungi bwalwo mubusiraamu n’engeri gyelusibibwamu.
MWEKWATE KUMUGUWA GWA ALLAH MWENNA WAMU TEMWAWUKANAANGA
2015-11-17
Khutuba eno yasomebwa Dr. Yahya ssemuddu era nga yannyonnyoleramu amakulu ga A’ya eno “Mwekwate ku muguwa gwa Allah mwena wamu temwawukananga” nagerageranya embeera abasiraamu zebalimu olwaleero nenga Nabbi tannatumwa, nabutya Nabbi bweyagatta wakati wabwe, nakubiriza abasiraamu okwenyeza kubumu era obutayawukana
OKUNYWEZA OLUGANDA LW’OBUSIRAAMU
2015-10-16
Yannyonnyola shk. Obukulu bw’oluganda lwobusiraamu, n’obuluungi bwakwo, oluvannyuma nannyonnyola amakubo agayamba okunyweza oluganda luno.
OKULAMULA KW’OBUSIRAAMU KUKIZAALA GUMBA
2015-10-14
Yannyonnyola shk. Mumusomo guno amakulu gekizaala gumba, n’amakubo agakozesebwa muyo n’okulamula kwa sharia kugo, n’obukwakkulizo bwakwo
OKWAWULA ALLAH MUKUSIINZA
2015-10-14
Yannyonnyola shk. Mumusomo guno amakulu g’okwawula allah mukusiinza, n’obukulu bwako, n’enjawulo wakatiiwe n’okwawula Allah mubulezi bwe, era nti Tawuhiid al Uluuhiyya yayawula wakati wabasiraamu n’abakafiir.
Go to the Top